Opinion

ENGUZI BUNNYA BWA SITAANI

Listen to this article on audio: Enguzi kikolimo eri omuntu agiwa era bwetyo bweri nooyo agikwata. Enguzi nkola ya sitaani ekulakulanya obutali bwenkanya mu mbeera zaffe eza bulijjo ngate tekonzibiza nkulakulaana ya bitundu byaffe esulayo bbiri. Bwendaba ekizimbe ekigudde, ekisooka okunzijira mu bwongo kibuuzo ekigamba nti oba ani yalya enguzi ku kizimbe ekyo? Mukungu ki asasulwa ssente z`omuwi womusolo atakutta? Mazima ddala enguzi nemukirizisa ekizimbe eky`ekiboggwe okugenda maaso n`okuzimbibwa. Yinginiya ki eyakirizza okuzimba ekizimbe ngakozesa ebizimbisibwa ebyekibogwe omuli sseminti atamala, …