Ngennaku zomwezi 18 omwezi ogw`okusatu omwakla ogwa 2020, amassomero gaggalwa mu kaweefube w`okutaasa abayizi obutakwatibwa ssenyinga lumiima
mawuggwe owa Covid-19 era bwe butyo abayizi obukadde 15 nebusindikibwa okudda ewaka. Alipoota okuva mu kitongole ekiteratekera eggwanga ki National Planning Authority eraga nti ku bayizi bano ebitundu 30 ku buli kikumi sibakudda ku massomero olwensonga ezenjawulo nga eyabayizi abawala abafuna embuto mu
muggalo eri ku mwanjo ddala. Hon. Joseph Gonzanga Ssewungu akirira Kalungu
eyobugwanjuba agamba nti mu budde eggwanga mwelyesanze, abaana abobuwala abalina embuto basanidde okukirizibwa nate mu massomero okukakalabya egyaabwe.