Steven Mayombwe, Wizarts Foundation Luganda language producer.

Listen to this article on audio:

Enguzi kikolimo eri omuntu agiwa era bwetyo bweri nooyo agikwata. Enguzi nkola ya sitaani ekulakulanya obutali bwenkanya mu mbeera zaffe eza bulijjo ngate tekonzibiza nkulakulaana ya bitundu byaffe esulayo bbiri.

Bwendaba ekizimbe ekigudde, ekisooka okunzijira mu bwongo kibuuzo ekigamba nti oba ani yalya enguzi ku kizimbe ekyo? Mukungu ki asasulwa ssente z`omuwi womusolo atakutta? Mazima ddala enguzi nemukirizisa ekizimbe eky`ekiboggwe okugenda maaso n`okuzimbibwa. Yinginiya ki eyakirizza okuzimba ekizimbe ngakozesa ebizimbisibwa ebyekibogwe omuli sseminti atamala, emitayimbwa emiyabayaba, oba omusenyu ogutabuddwa mungeri yannemalidde.

Olwenguzi, ekizimbe kino bwekigwa ate mwana wattu abasinga okukosebwa beeba nnalumanya. Abaana babanaku abawereeza ku bizimbe bino, banabyabusubuuzi abafiirwa obulamu bwaabwe kwossa nemaali yaabwe etokoma ngekizimbe kigudde. Kitalo!!! Kale laba oli bwafiirwa obulamu bwe olw`omuntu omu ku kkanso y`ekibuga eyayisa pulaani eyekicupuli oba yinginiya akirizza okuzimba ekizimbe ku mutindo ogwekibogwe ngatafudde ku biyinza kuddirira.

Enguzi kikolimo kyennyini era ddala bunnya bwa sitaani obwanamaddala. Enguzi kati etataliza namirimu gyakitiibwa ng`obusawo?! Ggwe ate omusawo owangaala otya mu bw`omuntu bwo buli woteeka oluba wansi ngokimannyi bulungi nti waliwo omuntu eyafiirwa obulamu bwe olwokulemererwa okukuwa enguzi? Musawo ggwe! Kiwulikika kitya munda muggwe nti omulwadde yafa kubanga eddagala eryanditasizza obulamu bwe ggwe ate walyezibika n`olitwala mu kalwaliro ko ak`obwanannyini? Owangaala otya nobulyake obwo?

Buli wolya enguzi oba bwowa enguzi oba owagidde eggwanga lyo okudda emabega munkola zonna omuli eby`obufuzi byaalyo, ebyefuna byaalyo kwossa nembeera zabantu ezabulijjo. Obadde okimannyi nti bwolonda munabyabufuzi atasanidde olwokuba nti yakuwa enguzi ovunanyizibwa kunkola ezekifere muntambuza yemirimu gya gavumenti?! Wali webuzizaako ani alya ssente ezandikoze emirimu? Kankubbireko, bebantu abalyake ffe ffennyini betulonda ngabamazze kusooka kutuwa nguzi.

Enguzi efuuse baana baliwo ensangi zino ngera buli wotunula amaaso kwogatuusizza! Naye, amawulire amalungi gali nti ffena wamu tulina kyetusobola okukyusaamu. Twogere kati nga tuwakanya okuwa enguzi oba nandiki okugisaba abalala.

Bwetunakola tutyo, tujja kuba tutandiise ku lugendo olwokukomya obulyake munsi yaffe.

Leave a comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *